Genesis 34:20-24

20 aAwo Kamoli ne mutabani we Sekemu ne batuuka ku wankaaki
wankaaki Abakadde b’ekibuga baasisinkananga ku wankaaki w’ekibuga okubaako ensonga ze bateesaako.
w’ekibuga kyabwe ne boogera n’abantu b’ekibuga kyabwe nga bagamba nti,
21Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe. 22Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe. 23Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe n’ensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe.

24 cAbasajja bonna abaali ku mulyango ebweru w’ekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru w’omulyango gw’ekibuga n’akomolebwa.

Copyright information for LugEEEE